-
Okuva 25:10-15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 “Bajja kukola essanduuko mu mbaawo z’omuti gwa sita; obuwanvu ejja kuba emikono* ebiri n’ekitundu, obugazi ejja kuba omukono gumu n’ekitundu, ate obugulumivu ejja kuba omukono gumu n’ekitundu.+ 11 Ojja kugibikkako zzaabu omulongoofu+ munda ne kungulu, era ojja kugissaako omuge ogwa zzaabu.+ 12 Ojja kugikolera empeta nnya eza zzaabu oziteeke waggulu w’amagulu gaayo ana, ng’ebbiri ziri ku ludda olumu ate ng’endala ebbiri ziri ku ludda olulala. 13 Era ojja kukola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita ogibikkeko zzaabu.+ 14 Ojja kuyingiza emisituliro mu mpeta eziri ku Ssanduuko eruuyi n’eruuyi, gikozesebwenga okusitula Essanduuko. 15 Emisituliro gya kusigalanga mu mpeta z’Essanduuko; tegiggibwangamu.+
-