-
Okuva 30:34, 35Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
34 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Funa eby’akaloosa bino nga biri mu bipimo ebyenkanankana:+ amasanda ga natafu, onuka, galabano ow’akaloosa, n’obubaani obweru obulongoofu. 35 Ojja kubikolamu obubaani;+ ebirungo ebyo ebiwunya akawoowo bijja kutabulwa mu ngeri ey’ekikugu, nga birimu omunnyo,+ nga birongoofu, era nga bitukuvu.
-