LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okuva 9:14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 Kubanga kaakano nkusindikira ggwe n’abaweereza bo, n’abantu bo, ebibonyoobonyo byange byonna, olyoke omanye nti tewali mulala alinga nze mu nsi yonna.+

  • Okuva 15:11
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  11 Ai Yakuwa, katonda ki alinga ggwe?+

      Ani alinga ggwe asingayo obutukuvu?+

      Ggwe asaanidde okutiibwa n’okutenderezebwa, ggwe akola ebyewuunyisa.+

  • Zabbuli 83:18
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 18 Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa,+

      Ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.+

  • Zabbuli 86:8
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  8 Ai Yakuwa, mu bakatonda teriiyo alinga ggwe,+

      Teriiyo bikolwa biringa bibyo.+

  • Isaaya 46:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  9 Mujjukire ebintu ebyayita* eby’omu biseera eby’edda,

      Nti nze Katonda, era teri mulala.

      Nze Katonda, era teriiyo alinga nze.+

  • Yeremiya 10:6, 7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  6 Tewali alinga ggwe, Ai Yakuwa.+

      Oli wa kitalo; erinnya lyo kkulu era lya maanyi.

       7 Ani ataakutye, Ai ggwe Kabaka w’amawanga?+ Kubanga ogwanidde okutiibwa;

      Tewali n’omu alinga ggwe,+

      Mu b’amagezi bonna ab’omu mawanga n’ab’omu bwakabaka bwabwe bwonna.

  • Abaruumi 9:17
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 17 Kubanga mu Kyawandiikibwa Katonda agamba Falaawo nti: “Nkulese ng’okyali mulamu, nsobole okukukozesa okulaga amaanyi gange, era erinnya lyange lisobole okulangirirwa mu nsi yonna.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share