-
Eby’Abaleevi 4:8-10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 “‘Ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi anaagiggyangako amasavu gonna, nga mw’otwalidde n’amasavu agabikka ku byenda n’amasavu gonna agali ku byenda, 9 n’ensigo ebbiri n’amasavu agaziriko agali okumpi n’ekiwato. Ate era anaggyangako ensigo n’amasavu agali ku kibumba.+ 10 Binaabanga bye bimu ng’ebyo ebiggibwa ku nte ennume eya ssaddaaka ey’emirembe.+ Era kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
-