-
Eby’Abaleevi 13:25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 kabona anaakikeberanga. Obwoya obuli awali ekiba bwe bubanga bufuuse bweru era nga kirabika kiyingidde nnyo mu lususu, ebyo bigenge ebifulumidde mu nkovu, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ndwadde ya bigenge.
-
-
Eby’Abaleevi 13:42Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
42 Naye ku mutwe awali ekiwalaata oba ku kyenyi bwe wajjangawo ebbwa erimyukirivu, ebyo biba bigenge ebiyiye ku mutwe oba ku kyenyi.
-
-
Okubala 12:12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Nkwegayiridde tomuleka kubeera ng’omwana azaalibwa ng’afudde, azaalibwa ng’omubiri gwe guliiriddwako ekitundu!”
-