-
Eby’Abaleevi 13:24, 25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 “Oba omuntu bw’abanga n’enkovu ey’omuliro ku lususu, awo awali enkovu ne wajjawo ekiba ekimyukirivu oba ekyeru, 25 kabona anaakikeberanga. Obwoya obuli awali ekiba bwe bubanga bufuuse bweru era nga kirabika kiyingidde nnyo mu lususu, ebyo bigenge ebifulumidde mu nkovu, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ndwadde ya bigenge.
-