-
Eby’Abaleevi 13:4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Naye ekiba ekiri ku lususu lwe bwe kiba ekyeru era nga kirabika tekiyingidde nnyo mu lususu era nga n’obwoya obuli awali ekiba tebufuuse bweru, kabona anaamwawulanga ku bantu abalala okumala ennaku musanvu.+
-
-
Eby’Abaleevi 14:38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
38 kabona anaafulumanga mu nnyumba n’agiggala okumala ennaku musanvu.+
-
-
Okubala 12:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Bw’atyo Miriyamu n’aggibwa mu lusiisira n’abeera ebweru waalwo okumala ennaku musanvu,+ era abantu tebaava mu kifo ekyo okutuusa Miriyamu lwe yakomezebwawo.
-