-
Olubereberye 37:34Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
34 Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, ne yeesiba ekibukutu mu kiwato n’akungubagira mutabani we okumala ennaku nnyingi.
-
-
Eby’Abaleevi 10:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abalala nti: “Temulema kufaayo ku nviiri zammwe era temuyuza byambalo byammwe,+ muleme okufa, era Katonda aleme okusunguwalira ekibiina kyonna. Baganda bammwe, ekibiina kyonna ekya Isirayiri, be banaakaabira abo Yakuwa b’asse n’omuliro.
-