-
Okubala 6:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Ne bwe kiba nti kitaawe oba nnyina oba muganda we oba mwannyina y’afudde, teyeeyonoonanga,+ kubanga akabonero akalaga nti Munaziri eri Katonda we kali ku mutwe gwe.
-
-
Okubala 19:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu yenna anaamalanga ennaku musanvu+ nga si mulongoofu.
-
-
Okubala 19:14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 “‘Lino lye tteeka erinaagobererwanga ng’omuntu afiiridde mu weema: Buli anaayingiranga mu weema eyo, na buli anaabanga mu weema eyo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.
-