30 Awo Yefusa ne yeeyama+ eri Yakuwa n’agamba nti: “Bw’onoowaayo Abaamoni mu mukono gwange, 31 oyo yenna anaafuluma mu mulyango gw’ennyumba yange okunsisinkana nga nkomyewo mirembe nga nva okulwana n’Abaamoni, anaaba wa Yakuwa,+ era nja kumuwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa.”+
11 era ne yeeyama ng’agamba nti: “Ai Yakuwa ow’eggye, bw’onootunuulira ennaku y’omuweereza wo n’onzijukira, era n’oteerabira muweereza wo, era n’omuwa omwana ow’obulenzi,+ nja kumuwa Yakuwa obulamu bwe bwonna, era akamweso tekaliyita ku mutwe gwe.”+