-
Okubala 14:35Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
35 “‘“Nze Yakuwa nze njogedde, era bw’entyo bwe nja okukola ekibiina kino kyonna ekibi, abo abakuŋŋaanye okumpakanya: Bajja kuzikiririra mu ddungu lino era muno mwe bajja okufiira.+
-
-
Okubala 16:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Awo Koola+ mutabani wa Izukali,+ mutabani wa Kokasi,+ mutabani wa Leevi,+ ne yeegatta wamu ne Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu,+ ne Oni mutabani wa Peresi, ab’oku baana ba Lewubeeni.+ 2 Beegatta ne bawakanya Musa nga bali wamu n’abasajja Abayisirayiri abalala 250, abaali abakulu mu kibiina era abaali abalonde mu kibiina, era nga basajja batutumufu.
-