-
Olubereberye 13:14, 15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 Lutti bwe yamala okwawukana ne Ibulaamu, Yakuwa n’agamba Ibulaamu nti: “Nkusaba oyimuse amaaso go ng’oyima w’oli otunule ebukiikakkono, n’ebukiikaddyo, n’ebuvanjuba, n’ebugwanjuba, 15 kubanga ensi yonna gy’olaba nja kugikuwa ggwe n’ezzadde lyo ebeere yammwe lubeerera.+
-
-
Ekyamateeka 32:52Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
52 Ensi ojja kugirengera bulengezi, naye tojja kugenda mu nsi eyo gye mpa abantu ba Isirayiri.”+
-