-
Nekkemiya 10:32, 33Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
32 Ate era tweteerawo etteeka buli omu ku ffe okuwangayo kimu kya kusatu ekya sekeri* buli mwaka zikozesebwe ku mirimu gy’omu nnyumba* ya Katonda waffe,+ 33 ku bintu bino: emigaati egipangibwa,*+ n’ekiweebwayo ky’emmere ey’empeke,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa ebya Ssabbiiti+ n’eby’oku kuboneka kw’omwezi,+ embaga ezaalagirwa,+ ebintu ebitukuvu, ebiweebwayo olw’ekibi+ okutangirira ebibi bya Isirayiri, ne ku mulimu gwonna ogw’ennyumba ya Katonda waffe.
-