-
Okuva 27:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 “Ojja kukola ekyoto mu mbaawo z’omuti gwa sita;+ obuwanvu kijja kuba emikono* etaano, n’obugazi emikono etaano. Kijja kuba n’enjuyi nnya ezenkanankana, era obugulumivu kijja kuba emikono esatu.+ 2 Ojja kukola amayembe+ ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gajja kuba wamu n’ekyoto, era ojja kukibikkako ekikomo.+
-
-
Okuva 30:1-3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
30 “Ojja kukola ekyoto eky’okwoterezangako obubaani;+ ojja kukikola mu mbaawo z’omuti gwa sita.+ 2 Enjuyi zaakyo ennya zijja kuba nga zenkanankana; obuwanvu kijja kuba omukono* gumu, obugazi omukono gumu, n’obugulumivu emikono ebiri. Amayembe gaakyo gajja kuba ga muti gumu nakyo.+ 3 Ojja kukibikkako zzaabu omulongoofu kungulu waakyo ne ku njuyi zaakyo zonna ne ku mayembe gaakyo, era okisseeko omuge ogwa zzaabu.
-