-
Yoswa 20:7, 8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Awo ne batukuza* Kedesi+ eky’omu Ggaliraaya ekiri mu kitundu kya Nafutaali eky’ensozi, ne Sekemu+ ekiri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, ne Kiriyasu-aluba,+ kwe kugamba, Kebbulooni, ekiri mu kitundu kya Yuda eky’ensozi. 8 Mu kitundu ekiri ebuvanjuba wa Yoludaani, okuliraana Yeriko, baalonda Bezeri+ eky’ekika kya Lewubeeni ekiri mu ddungu mu kitundu eky’omuseetwe, ne Lamosi+ eky’ekika kya Gaadi ekiri mu Gireyaadi, ne Golani+ eky’ekika kya Manase+ ekiri mu Basani.
-
-
Yoswa 21:27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Okuva mu kitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase, Abagerusoni,+ ab’omu mpya z’Abaleevi baaweebwa ekibuga ekyali eky’okuddukirangamu oyo eyandibaddenga asse omuntu, nga kino kye kibuga Golani+ eky’omu Basani n’amalundiro gaakyo. Ate era baaweebwa n’ekibuga Beesutera n’amalundiro gaakyo—ebibuga bibiri.
-