-
Okubala 18:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 “Buli kiggulanda mu bintu ebiramu byonna+ kye banaaleetanga eri Yakuwa, k’abe omuntu oba ensolo, kinaabanga kikyo. Kyokka omubereberye mu bantu onoomununulanga,+ era n’ebisolo ebibereberye mu nsolo ezitali nnongoofu onoobinunulanga.+ 16 Onoobinunulanga n’omuwendo ogununula, nga bya mwezi gumu n’okudda waggulu, okusinziira ku muwendo omugereke, ze sekeri za ffeeza ttaano,+ nga sekeri* ey’omu kifo ekitukuvu bw’eri.* Sekeri emu ze gera* 20.
-