-
Okubala 3:36, 37Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
36 Abaana ba Merali be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira fuleemu+ za weema entukuvu, n’emiti+ gyayo, n’empagi+ zaayo, n’obutoffaali bwayo obulimu ebituli, n’ebintu+ byayo byonna, n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo,+ 37 n’empagi ezaali zeetooloola oluggya lwonna, n’obutoffaali bwazo obulimu ebituli,+ n’enninga zaazo, n’emiguwa gyazo.
-