26 Ekirwadde bwe kyakoma,+ Yakuwa n’agamba Musa ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona nti: 2 “Mubale ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe, buli yenna asobola okuweereza mu ggye lya Isirayiri.”+