-
Eby’Abaleevi 6:4, 5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Bw’abanga ayonoonye era ng’aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yabba, oba kye yanyaga, oba kye yafuna mu bukumpanya, oba kye yateresebwa, oba ekyali kibuze kye yazuula, 5 oba ekintu kyonna kye yalayirira ng’alimba; anaakisasulanga mu bujjuvu+ era anaayongerangako kimu kya kutaano eky’omuwendo gwakyo. Anaakiddizanga nnannyini kyo ku lunaku lwe kinaakakasibwanga nti aliko omusango.
-