LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 6:14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 “‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke:+ Batabani ba Alooni banaakiwangayo eri Yakuwa mu maaso g’ekyoto.

  • Eby’Abaleevi 6:17
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 17 Tekifumbirwangamu kizimbulukusa.+ Nkibawadde ng’omugabo gwabwe okuva ku biweebwayo byange ebyokebwa n’omuliro.+ Kintu kitukuvu nnyo,+ ng’ekiweebwayo olw’ekibi era ng’ekiweebwayo olw’omusango.

  • Eby’Abaleevi 7:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 7 “‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo olw’omusango:+ Kitukuvu nnyo.

  • Eby’Abaleevi 7:6
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 6 Buli musajja aweereza nga kabona anaakiryanga,+ era kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu. Kintu kitukuvu nnyo.+

  • Eby’Abaleevi 10:12, 13
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 12 Musa n’agamba Alooni ne batabani be, Eriyazaali ne Isamaali, abaali basigaddewo nti: “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekifisseewo ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, mukiriire okumpi n’ekyoto+ ng’omugaati ogutali muzimbulukuse, kubanga kintu kitukuvu nnyo.+ 13 Mukiriire mu kifo ekitukuvu,+ kubanga gwe mugabo gwo era gwe mugabo gwa batabani bo okuva ku biweebwayo eri Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, kubanga ekyo kye bandagidde.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share