-
Okuva 29:27, 28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Ojja kutukuza ekifuba ky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’okugulu okw’ekiweebwayo ekitukuvu ekyawuubiddwa era ekyaggiddwa ku ndiga eweebwayo ku kutongozebwa ku bwakabona,+ eyaweereddwayo ku lwa Alooni ne ku lwa batabani be. 28 Bijjanga kuba bya Alooni ne batabani be olw’etteeka ery’olubeerera erinaakwatibwanga Abayisirayiri, kubanga ekyo kiweebwayo kitukuvu, era kijja kubeera kiweebwayo kitukuvu Abayisirayiri kye banaawangayo.+ Kye kiweebwayo ekitukuvu eri Yakuwa ekinaggibwanga ku ssaddaaka zaabwe ez’emirembe.+
-
-
Ekyamateeka 18:3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 “Guno gwe gunaabanga omugabo gwa bakabona okuva mu bantu: Buli anaawangayo ssaddaaka, k’ebe ya nte oba ya ndiga, anaawanga kabona omukono, emba zombi, n’ebyenda.
-
-
1 Abakkolinso 9:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Temumanyi nti abantu abakola emirimu emitukuvu balya ku bintu by’omu yeekaalu, n’abo abakola emirimu gy’oku kyoto bagabana ku biweebwayo ku kyoto?+
-