9 Temumanyi nti abatali batuukirivu tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda?+ Temubuzaabuzibwanga. Abagwenyufu,+ abasinza ebifaananyi,+ abenzi,+ abasajja abeewaayo okuliibwa ebisiyaga,+ abalya ebisiyaga,+ 10 ababbi, ab’omululu,+ abatamiivu,+ abavumi, n’abanyazi, tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.+