Olubereberye 29:35 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 35 Era n’aba olubuto nate, n’azaala omwana ow’obulenzi n’agamba nti: “Ku mulundi guno nja kutendereza Yakuwa.” Kyeyava amutuuma Yuda.*+ Awo n’alekera awo okuzaala. Olubereberye 46:12 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 12 Batabani ba Yuda+ be bano: Eli, Onani, Seera,+ Pereezi,+ ne Zeera.+ Kyokka Eli ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.+ Batabani ba Pereezi be bano: Kezulooni ne Kamuli.+ Okubala 2:3, 4 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 3 “Abo abanaasiisira ku luuyi olw’ebuvanjuba bajja kuba ab’ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Yuda, ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Yuda ye Nakusoni+ mutabani wa Amminadaabu. 4 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 74,600.+ 1 Ebyomumirembe Ekisooka 5:2 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 2 Wadde nga Yuda+ yali mukulu okusinga baganda be, era nga mu ye mwe mwava ow’okuba omukulembeze,+ omugabo ogw’omwana omubereberye gwali gwa Yusufu. Matayo 1:2 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 2 Ibulayimu yazaala Isaaka;+Isaaka n’azaala Yakobo;+Yakobo n’azaala Yuda+ ne baganda be; Abebbulaniya 7:14 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 14 Kimanyiddwa bulungi nti Mukama waffe yava mu kika kya Yuda,+ Musa ky’ataayogerako nti kirivaamu bakabona.
35 Era n’aba olubuto nate, n’azaala omwana ow’obulenzi n’agamba nti: “Ku mulundi guno nja kutendereza Yakuwa.” Kyeyava amutuuma Yuda.*+ Awo n’alekera awo okuzaala.
12 Batabani ba Yuda+ be bano: Eli, Onani, Seera,+ Pereezi,+ ne Zeera.+ Kyokka Eli ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.+ Batabani ba Pereezi be bano: Kezulooni ne Kamuli.+
3 “Abo abanaasiisira ku luuyi olw’ebuvanjuba bajja kuba ab’ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Yuda, ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Yuda ye Nakusoni+ mutabani wa Amminadaabu. 4 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 74,600.+
2 Wadde nga Yuda+ yali mukulu okusinga baganda be, era nga mu ye mwe mwava ow’okuba omukulembeze,+ omugabo ogw’omwana omubereberye gwali gwa Yusufu.
2 Ibulayimu yazaala Isaaka;+Isaaka n’azaala Yakobo;+Yakobo n’azaala Yuda+ ne baganda be; Abebbulaniya 7:14 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 14 Kimanyiddwa bulungi nti Mukama waffe yava mu kika kya Yuda,+ Musa ky’ataayogerako nti kirivaamu bakabona.
14 Kimanyiddwa bulungi nti Mukama waffe yava mu kika kya Yuda,+ Musa ky’ataayogerako nti kirivaamu bakabona.