-
Olubereberye 48:17-19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, ne kitamusanyusa, n’agezaako okukwata omukono gwa kitaawe aguggye ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 Yusufu n’agamba kitaawe nti: “Nedda taata, ono ye mubereberye.+ Omukono gwo ogwa ddyo guteeke ku mutwe gwe.” 19 Naye kitaawe n’agaana, ng’agamba nti: “Nkimanyi mwana wange, nkimanyi. Naye alifuuka ekibiina ky’abantu, era naye aliba mukulu. Kyokka muto we alimusinga obukulu.+ Era abaana be baliba bangi nnyo nga basobola okuvaamu amawanga.”+
-