LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 30:4-6
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 4 N’amuwa Biruka omuweereza we abe mukazi we, era Yakobo ne yeegatta naye.+ 5 Biruka n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana ow’obulenzi. 6 Awo Laakeeri n’agamba nti: “Katonda y’abadde omulamuzi wange era awulirizza eddoboozi lyange n’ampa omwana ow’obulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani.*+

  • Olubereberye 46:23
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 23 Mutabani* wa Ddaani+ yali Kusimu.+

  • Okubala 2:25, 26
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 25 “Abo abanaabeera ku luuyi olw’ebukiikakkono bajja kuba ab’ekibinja ky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Ddaani ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Ddaani ye Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi. 26 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 62,700.+

  • Okubala 10:25
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 25 Awo ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lw’abaana ba Ddaani ne kisimbula okusinziira ku bibinja by’eggye lyakyo, ne kiba nga kye kikuuma ensiisira zonna ku luuyi olw’emabega. Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi ye yali akulira eggye lyakyo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share