LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 13:16
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 16 Era ezzadde lyo ndirifuula ng’enfuufu y’ensi, era singa omuntu yenna asobola okubala enfuufu y’ensi, n’ezzadde lyo lyandisobose okubalibwa.+

  • Olubereberye 22:17
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 17 nja kukuwa omukisa, era nja kwaza ezzadde lyo libe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja;+ era ezzadde lyo liritwala omulyango* gw’abalabe baalyo.+

  • Olubereberye 46:3
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 3 N’amugamba nti: “Nze Katonda ow’amazima, Katonda wa kitaawo.+ Totya kugenda Misiri kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene.+

  • Okuva 38:26
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 26 Abasajja abaawandiikibwa, okuva ku b’emyaka abiri n’okudda waggulu+ baali 603,550.+ Buli omu yaleeta kitundu kimu kya kubiri ekya sekeri, okusinziira ku sekeri ey’omu kifo ekitukuvu.*

  • Okubala 2:32
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 32 Abo be Bayisirayiri abaawandiikibwa okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe; abo bonna abaali mu nsiisira abaawandiikibwa okuweereza mu magye baali 603,550.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share