-
Okubala 26:63, 64Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
63 Abo be baawandiikibwa Musa ne Eriyazaali kabona, bwe baawandiika Abayisirayiri mu ddungu lya Mowaabu okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko. 64 Naye mu bo temwali n’omu ku abo abaawandiikibwa Musa ne Alooni kabona, Abayisirayiri lwe baabalibwa mu ddungu lya Sinaayi.+
-