2 Awo Keezeekiya n’alonda bakabona n’Abaleevi okusinziira ku bibinja byabwe,+ buli kabona na buli Muleevi ng’obuweereza bwe bwe bwali,+ okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe, okuweereza n’okwebaza n’okutendereza Katonda ku miryango gyonna egy’empya za Yakuwa.+