-
Okubala 4:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 “Alooni ne batabani be bajja kumalirizanga okubikka ku kifo ekitukuvu+ ne ku bintu byonna eby’omu kifo ekitukuvu ng’abantu basitula okugenda, era oluvannyuma abaana ba Kokasi bajja kujjanga babisitule,+ naye tebakwatanga ku kifo ekitukuvu baleme okufa.+ Abaana ba Kokasi be balina obuvunaanyizibwa obw’okusitula ebintu ebyo ebya weema ey’okusisinkaniramu.
-
-
Okubala 4:24-26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Bino ab’omu mpya z’Abagerusoni bye baweereddwa okulabirira n’okusitula:+ 25 Bajja kusitulanga emitanda gya weema entukuvu,+ weema ey’okusisinkaniramu, eky’okubikkako kyayo n’eky’okubikkako eky’okungulu+ eky’amaliba amagonvu, n’olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu,+ 26 n’entimbe z’oluggya,+ n’olutimbe olw’omu mulyango gw’oluggya+ olwetoolodde weema entukuvu n’ekyoto, n’emiguwa gyazo, n’ebintu byonna ebikozesebwa mu kuweereza ku weema. Egyo gye mirimu gyabwe.
-
-
Okubala 4:31-33Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
31 Bino bye balinanga okusitula+ mu buweereza bwabwe obukwata ku weema ey’okusisinkaniramu: fuleemu+ za weema entukuvu, emiti+ gyayo, empagi+ zaayo, obutoffaali bwayo obulimu ebituli,+ 32 empagi+ ez’oluggya olwetooloddewo, obutoffaali+ bwazo obulimu ebituli, enninga+ zaazo, emiguwa gyazo, ne byonna ebikozesebwa ku bintu bino, ne byonna ebikwata ku buweereza buno. Buli omu ojja kumuwanga ebintu by’alina okusitula. 33 Bwe batyo ab’empya z’abaana ba Merali+ bwe banaaweerezanga ku weema ey’okusisinkaniramu nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”+
-