34 Abayisirayiri baakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga okusinziira ku bibinja byabwe eby’ebika ebisatu ebisatu,+ era bwe batyo bwe baasitulanga okugenda,+ buli omu okusinziira ku luggya lwe era ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.