-
Okubala 21:23, 24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Naye Sikoni teyakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye, wabula yakuŋŋaanya abantu be bonna n’agenda okwaŋŋanga Isirayiri mu ddungu, n’atuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri.+ 24 Kyokka Isirayiri n’amuwangula ng’akozesa ekitala+ era n’atwala ensi+ ye okuva ku Alunoni+ okutuuka ku Yabboki,+ okuliraana Abaamoni; kubanga Yazeri+ kiri ku nsalo y’ensi y’Abaamoni.+
-
-
Okubala 21:33-35Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
33 Oluvannyuma ne baweta ne bakwata ekkubo erigenda e Basani. Awo Ogi+ kabaka wa Basani n’ajja n’abantu be bonna okulwana nabo e Edereyi.+ 34 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Tomutya+ kubanga ŋŋenda kumuwaayo mu mukono gwo,+ ye n’abantu be bonna n’ensi ye; era ojja kumukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abaamoli eyabeeranga mu Kesuboni.”+ 35 Awo ne bamutta awamu ne batabani be n’abantu be bonna, ne watasigalawo n’omu ku bantu be+ era ne batwala ensi ye.+
-