-
Yoswa 18:19, 20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Ensalo yeeyongerayo n’etuuka ku kaserengeto ka Besu-kogula+ ak’ebukiikakkono, n’ekoma ku kyondo ky’Ennyanja ey’Omunnyo*+ eky’ebukiikakkono ku luuyi olw’ebukiikaddyo olw’Omugga Yoludaani. Eyo ye yali ensalo ey’ebukiikaddyo. 20 Yoludaani ye yali ensalo y’ekitundu kya Benyamini ku luuyi olw’ebuvanjuba. Ezo ze zaali ensalo okwetooloola obusika bwa bazzukulu ba Benyamini ng’empya zaabwe bwe zaali.
-