28 Obutaka bwabwe n’ebifo byabwe bye baabeerangamu bye bino: Beseri+ n’obubuga obukyetoolodde; ebuvanjuba waaliyo Naalani, ate ebugwanjuba waaliyo Gezeri n’obubuga obukyetoolodde, ne Sekemu n’obubuga obukyetoolodde, okutuukira ddala e Aya n’obubuga obukyetoolodde;