9 Ensalo yava waggulu ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku nsulo y’amazzi ga Nefutowa,+ ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga ebiri ku Lusozi Efulooni; awo ensalo ne yeeyongerayo e Bbaala, kwe kugamba, e Kiriyasu-yalimu.+
12 Ensalo ey’ebugwanjuba yali eyita ku Nnyanja Ennene*+ ne ku lubalama lwayo. Ezo ze zaali ensalo z’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’empya zaabwe bwe zaali.