-
Yoswa 3:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Kale kaakano mulonde abasajja 12 okuva mu bika bya Isirayiri, omusajja omu omu okuva mu buli kika.+ 13 Amangu ddala nga bakabona abasitudde Essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa, Mukama ow’ensi yonna, balinnye mu Mugga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani agakulukuta nga gava ku ludda olw’eky’engulu gajja kulekera awo okukulukuta geetuume wamu.”+
-