33 Awo Musa n’awa abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni+ n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase+ mutabani wa Yusufu obwakabaka bwa Sikoni+ kabaka w’Abaamoli n’obwakabaka bwa Ogi+ kabaka wa Basani, kwe kugamba, ettaka ly’ebibuga mu bitundu ebyo, n’obubuga bw’omu bitundu ebyetooloddewo.