-
Ekyamateeka 13:12-15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 “Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga byo Yakuwa Katonda wo by’agenda okukuwa obeeremu nga bagamba nti, 13 ‘Abasajja abatalina mugaso bavudde mu mmwe okukyamya abantu b’omu kibuga kyabwe nga bagamba nti: “Ka tugende tuweereze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyi,’ 14 oneekenneenyanga n’onoonyereza era n’obuuliriza n’obwegendereza ku nsonga eyo;+ era bwe kinaakakasibwanga nti kituufu, nti ekintu ekyo eky’omuzizo kikoleddwa wakati mu ggwe, 15 ottanga abantu b’omu kibuga ekyo n’ekitala.+ Ekibuga ne byonna ebikirimu n’ensolo zaamu obizikirizanga.+
-