-
Yoswa 19:47, 48Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
47 Naye ekitundu kya Ddaani kyali tekibamala.+ Awo ab’ekika kya Ddaani ne bambuka ne balwanyisa Lesemu+ ne bakiwamba ne batta abantu baamu n’ekitala. Awo ne bakyeddiza, ne bakibeeramu, era ne bakyusa erinnya lyakyo ne bakituuma Ddaani, nga bakibbula mu Ddaani, jjajjaabwe.+ 48 Obwo bwe bwali obusika bw’ab’ekika kya Ddaani ng’empya zaabwe bwe zaali, era ebyo bye byali ebibuga n’ebyalo ebibyetoolodde.
-
-
1 Bassekabaka 4:25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Ekiseera kyonna eky’obulamu bwa Sulemaani, abantu b’omu Yuda ne Isirayiri baali mu mirembe, nga buli muntu ali wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba.
-