-
1 Bassekabaka 4:24, 25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Yali afuga ekitundu kyonna ku ludda luno olw’Omugga,*+ okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza,+ nga mw’otwalidde ne bakabaka bonna abaali ku ludda luno olw’Omugga; waaliwo emirembe mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwe.+ 25 Ekiseera kyonna eky’obulamu bwa Sulemaani, abantu b’omu Yuda ne Isirayiri baali mu mirembe, nga buli muntu ali wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba.
-