-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 22:9, 10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Laba, ojja kuzaala omwana ow’obulenzi+ ajja okuba omusajja ow’emirembe, era nja kumuwa ekiwummulo nga mmuwonya abalabe be bonna ku njuyi zonna;+ ajja kuyitibwa Sulemaani,*+ era mu nnaku ze ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu.+ 10 Oyo y’ajja okuzimbira erinnya lyange ennyumba.+ Ajja kuba mwana wange, nange nja kuba kitaawe.+ Nja kunyweza entebe y’obwakabaka bwe ku Isirayiri emirembe gyonna.’+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 2:4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Kaakano nzimba ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wange ngimutukulize, njoterezenga obubaani obw’akaloosa+ mu maaso ge, nzisengawo emigaati egipangibwa,*+ era mpengayo ebiweebwayo ebyokebwa ku makya n’akawungeezi,+ ku ssabbiiti,+ ku kuboneka kw’omwezi,+ ne ku mbaga+ za Yakuwa Katonda waffe. Kino Isirayiri eteekeddwa okukikola olubeerera.
-