-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 2:11, 12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Awo Kiramu kabaka wa Ttuulo n’awandiikira Sulemaani ebbaluwa ng’egamba nti: “Olw’okuba Yakuwa ayagala abantu be yakulonda okuba kabaka waabwe.” 12 Era Kiramu n’agamba nti: “Yakuwa Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi atenderezebwe, kubanga yawa Kabaka Dawudi omwana ow’amagezi,+ omutegeevu, era alina okumanya,+ ajja okuzimbira Yakuwa ennyumba era naye yeezimbire olubiri.
-