-
1 Bassekabaka 9:20-22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Abantu bonna abaasigalawo ku Baamoli, n’Abakiiti, n’Abaperizi, n’Abakiivi, n’Abayebusi,+ abantu abataali Bayisirayiri,+ 21 kwe kugamba, bazzukulu baabwe abaali basigaddewo mu nsi—abo Abayisirayiri be bataayinza kuzikiriza—Sulemaani yabafuula baddu n’abakozesa emirimu egy’obuwaze, era bakyagikola n’okutuusa leero.+ 22 Naye tewali n’omu ku Bayisirayiri Sulemaani gwe yafuula muddu,+ kubanga baali balwanyi be, baweereza, baami, bakungu, era abaakuliranga abavuga amagaali ge n’abeebagala embalaasi.
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 2:17, 18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Awo Sulemaani n’abala abasajja bonna abagwira abaali mu nsi ya Isirayiri+ nga kitaawe Dawudi+ bwe yali akoze, era bonna awamu baali 153,600. 18 Abasajja 70,000 ku bo yabawa emirimu egitali gimu,* 80,000 n’abawa ogw’okutema amayinja+ mu nsozi, ate 3,600 n’abawa obuvunaanyizibwa obw’okukozesa abantu emirimu.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 8:7-9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti n’Abaamoli n’Abaperizi n’Abakiivi n’Abayebusi,+ abantu abataali Bayisirayiri,+ 8 kwe kugamba, bazzukulu baabwe abaali basigaddewo mu nsi—abo abataazikirizibwa Bayisirayiri+—Sulemaani yabakozesanga emirimu egy’obuddu, era bakyagikola n’okutuusa leero.+ 9 Naye tewali n’omu ku Bayisirayiri gwe yafuula omuddu okukolanga emirimu gye,+ kubanga baali balwanyi be era baakuliranga abaami be n’abaali bavuga amagaali ge n’abasajja be abeebagala embalaasi.+
-