9 Amayumba ago gonna gaazimbibwa na mayinja amateme ag’ebbeeyi,+ okuva ku musingi okutuuka ku bisenge waggulu, n’ebweru okutuukira ddala ku luggya olunene.+ Amayinja ago gaali gasaliddwa na misumeeno ku njuyi zaago zonna, okusinziira ku bipimo byago.