9 Oluvannyuma lw’ekyo, Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase baaleka Abayisirayiri abalala e Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, ne baddayo mu kitundu ky’e Gireyaadi+ ekyabaweebwa, nga Yakuwa bwe yalagira okuyitira mu Musa.+