-
1 Samwiri 27:5, 6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Awo Dawudi n’agamba Akisi nti: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, bampe ekifo mu kamu ku bubuga obutono mbeere omwo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga kya kabaka?” 6 Awo Akisi kwe kumuwa Zikulagi+ ku lunaku olwo, era eyo ye nsonga lwaki Zikulagi kibuga kya bakabaka ba Yuda n’okutuusa leero.
-