17 Ekitiibwa kye kiringa ekya sseddume embereberye,
Era amayembe ge galinga aga sseddume ey’omu nsiko.
Aligakozesa okusindika amawanga,
Amawanga gonna okutuuka ku nkomerero y’ensi.
Amayembe ago gye mitwalo n’emitwalo gya Efulayimu,+
Era ze nkumi n’enkumi za Manase.”