-
Ekyabalamuzi 9:5, 6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Oluvannyuma n’agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula+ n’atta baganda be,+ batabani ba Yerubbaali 70, era bonna yabattira ku jjinja limu. Yosamu mutabani wa Yerubbaali eyali asembayo obuto ye yawonawo yekka, kubanga yeekweka.
6 Awo abakulembeze b’omu Sekemu bonna ne Besu-miiro yenna ne bakuŋŋaana ne bafuula Abimereki kabaka,+ nga bali kumpi n’omuti omunene era n’empagi eyali mu Sekemu.
-