-
2 Bassekabaka 8:20-22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Mu kiseera kya Yekolaamu, Edomu yajeemera Yuda+ ne yeeteerawo kabaka waayo.+ 21 Yekolaamu yagenda e Zayiri n’amagaali ge gonna. Bwe bwatuuka ekiro, n’asituka n’alwanyisa Abeedomu abaali bamuzingizza era nga bazingizza n’abakulu b’amagaali n’abawangula, era abasirikale ne baddukira mu weema zaabwe. 22 Naye Edomu yeeyongera okujeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna+ nayo yajeema.
-