25 Mu mwaka ogw’okutaano ogw’obufuzi bwa Kabaka Lekobowaamu, Kabaka Sisaki+ owa Misiri yalumba Yerusaalemi.+ 26 Yatwala eby’obugagga eby’omu nnyumba ya Yakuwa n’eby’omu nnyumba ya kabaka.+ Yatwala buli kintu, n’atwaliramu n’engabo zonna eza zzaabu Sulemaani ze yakola.+