22 Awo abantu b’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya omwana we asembayo obuto kabaka mu kifo kye, kubanga ekibinja ky’abazigu ekyajja n’Abawalabu mu lusiisira, kyatta abaana be bonna abakulu.+ Bw’atyo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga nga kabaka wa Yuda.+